Eyatta Ben

Eyatta Ben

Eyatta Ben Zaali mbira, Ow’obutiiti yawubwa Ekiwato namuziga, Obwekulungufu Bwamufa busa! Eyatta Ben Muwulenge, Omwoyo gwanoba Ekituli mutuli! Ewali omutima, Mpewo! Ben Kiwanuka Ben Kiwanuka Eka bampita! Kibuyaga akunta Mu kusikulwa kw’ akazimu Ben Kiwanuka Eka bampita Tobuyita obukkufu bw’abato Naye omusajja yeepimye Akumize omusu Akuyengere obulukumi Obwongo bwo bumalirize nga bussa Mu kibiina ekyomusanvu Oba ku Yidi etaliiko Amiini Eyatta Ben Lugoye lumyufu, Okwewa obuyinza, Nfuufu mu nfuufu Keesi yagulwa Naye entaana yabula Amateeka yasoma Kati ku ye, bannamateeka basoma Ben Kiwanuka Ben Kiwanuka Entuuyo mmyufu Enjuba tejja kugolooba Beesaze akajegere Eddiini ya bakyeruppe Mu beŋŋanda yakwaluza Bweru wa kibbo nga mmomboze Kati ettooke toolirye ku Yidi ebonese Kuba, eyatta Ben Teyatta Ben, yatta Uganda Eno si ye Uganda bajjajja Gye baakolerera Guno muzimu gwayo Ekitontome Kya Ronald Kasirivu Ssekajja mu Katabo “Ettogero Ly’ Ebitontome” Kafuluma mwezi guno Poem Inspired by Kagayi Ngobi’s Poem “Nightmare” a poem about Uganda’s unsung Hero in his book “The Headline that Morning”

Add Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *

This is a wonderful blog for creative writing: a rich source of inspiration combined with a strong presence of the author.

Lisa Smith
Lisa SmithNY

I enjoyed every piece of it. How intelligent and delightful your writings are! Every single article belongs here.

Natalie Jackson

Those illustrations complete the charming atmosphere of your works. Smart decision on including them here and there.

John McGill
John McGillTX
ArabicDutchEnglishFrenchGermanItalianPortugueseRussianSpanish