Mu kisasi gye nsula,
Bbinika bye bikopo!
Ebigambo bijjira ku kamasu,
Nga zziga lya Wammese.
Mu kalippagano, zaakwebera,
Ogukola tegukola,
Ezaali essaala zaafuuka biwoobe!
Enjuba yagaana okuzuukuka,
Omutima gwagaana,
Ku bitontome byange,
Gwalema okugolooba.
Kya Ronald Kasirivu Ssekajja
Okuva mu Katabo “Olwendo Lw’ Ebiyiiye” Kafuluma mu wiiki ntono nnyo
Ekifananyi Kya Lydia Jazmine
Add Comment