Eno gyetwatuula,
Ebiire bikyemoola
Emitima betwajitonela
Mu zikunta beetwala
Batuleka mpwangali
Oba olyawo nga mbwa ku gaali
Mu kweboolya kwe birooto
Tunonya ebitukula mu bisooto
Nga twagala kyeere
ng’ ababulwa ekipimo
Obwongo butwefumba,
Obuzito tubwebigika
Nga tweziribangira mu katubagiro
Nga tutontomera mu kweyigayiganya
Emitima gyaffe bagiyuzayuza
Esuubi lyaffe balibuzabuza
Nga tupimapimamu we tutuse
Amazima nga lugendo wala!
Nga tuzolokana mu kufumintiriza
Wakati mu buggiggi bw’ekiwuubalo
Nga twayogera natwemalayo!
Mu mpulubujju z’okweyama ne bwetutayiina
Naye kwelima bakombako!
Eno ewaffe tekyaava bakko
Tetukyalina betuwa nkonko
Tekyali atuyambako
Wadde atunaza ku Kko
Mikwano gwaffe twabakolaki?
Abandi kati bawowoola
Eno gwanga mujje yewulilwa
Sikulwa ng’ abamu tupanga butwa
Wakati mu kulajjanira betwagala
Add Comment